Verse 1 Nkoze nnyo empisa nzimazeeyo Chris ebintu by'omukwano nze binnemye Mazima n'oba ng'eyazza omusango abasajja! Aah Kkomera lya laavu Linsuza nkaaba bannange, haa Serena nsazeewo ngenze, kaneeyombekere Mazima n'obwenzi bwe bunsusseeko Bawala n'okunvuma banvumye nnyo Banvumira ki kale nga basanga anyiridde? Nze ntoba Kkomera lya laavu Linsuza nkaaba bannange, haa Serena nsazeewo ngenze, Kaneeyombekere Chorus Bino bikalubye kisusse Togeza nnyabo ne gy'odda bizibu Akomawo mwenda nga bukya Gwe nno kale at least akomawo Nedda bikalubye birumya Togeza nnyabo ne gy'odda bizibu Akomawo mwenda atamidde Gwe nno kale at least akomawo Verse 2 Eeh twajjirwa emirimu Tampa time mbu akola nnyo Ndowooza wamma nze najja Kukuuma nju nkizudde, ndabye Olwo munaalya ki ate? Muleke akole ssente Serena obwavu ndwadde Oyo omukozi musiimye nnyo Essimu ye ndaba ye mukazi we Misana n'ekiro ndaba akyatinga Ono ne bw'omuwa emmere tagirya Essimu yamwefuga Kasita agigula, N'agireeta gwe n'ofumba Obutava ku ssimu aba ne deal Mufune enkya kyemunaalya Chorus Bino bikalubye kisusse Togeza nnyabo ne gy'odda bizibu Akomawo mwenda nga bukya Gwe nno kale at least akomawo Nedda bikalubye birumya Togeza nnyabo ne gy'odda bizibu Akomawo mwenda atamidde Gwe nno kale at least akomawo Verse 3 Sijja kusala gwa kawala Nga waliyo ogw'akalenzi Muko nange yangamba Mbu toyomba osula Ntebe Mbu ate ebbuba eriri ku gwe Kisaawe kiramba Gwe omuwolereza lwakuba Oli musajja naawe Ndowooza naawe eyo bw'obeera Mulamu ng'alabye Tebikukankanyanga ebyo Abo abawala mukoka Giyite empewo eno ekunta Just know gwe first priority Mukwate mpola ajja kukyuka Mulinde mu kisenge omugambe Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka Outro Aleeta abakazi ewange Tuula, Kasita yegwe General Nywera Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka Abawala message ze basindika Tuula Nzisoma nga yeebase Nywera Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka Kibi okebera essimu Tuula Eya bba wo mukwano Nywera Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka Kyokka ye omwami Tuula Wa ddembe okukebera eyiyo Nywera (Shaa!) Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka Ate baggya bange bangi Tuula Ne ba jajja baaguma Nywera Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka Luli nasanga obupiira Tuula Oyo mulungi yekuuma nyweza Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka Naye enkya nze ssiggulawo Tuula Kakisule wabweru Nywera Abo abakuwaga ogende Bw'onovaawo nga baseka
Lyrics Frame UG
Your lyrics hub!

3 Comments
sisiQfluc-me-1993 Diana Koroma https://wakelet.com/wake/HwVCUlR9uJkXxSfPXUOIi
ReplyDeletebipymorgeo
erbi0sei_he Courtney Kiana https://www.okapuf2trust.co.nz/profile/Student-Companionpdf-VERIFIED/profile
ReplyDeletedrilunremde
UdistdiaXmonssa Shannon Baker Winamp Pro
ReplyDeleteAutodesk Maya
Microsoft Visio Professional
bandmadmipha