David Lutalo Silivia mp3 Song Lyrics
Silivia by David Lutalo mp3 Song Lyrics Download
Bulijjo mbuuza ki nkwagala baby love
Ddala nafuna nyingi entumbukako nga stove
Sirikulekawo ndaba nabalala nabo babofu
Ekilaavu kyo kyongabira nga kikwafu
Silivia, mazima ogenda kunzita nze
Nga yebale, Katonda eyakuntondera nze
Sweetie sweetie, Sili
Silivia, honey
Ye nze akwagala, Sili
Sylvia, sweetie
Omwana anjagala bye mwogera tabiriiko
(Sylvia onsobola)
Kyova olaba ndaluka nteekamu nakatijjo
(Sylvia osobola)
Sweetie Sili, Siri, Siriri Silivia
(Sylvia onsobola)
Baby laba bwonkutula enyingo
Nontokosa ng'akatogo
Mukwano gwo gwe gwandeeta nenkobogo
Laba gumeza n'olutiko
Love yo yanjikira nga bulo
Njiwulira mu mutwe yankwata nga tulo
Kalube olumbe ddala ddala nze wuwo
Ye ndiba wooli bube misana oba kiro
Nzunga nga awunze nkwatako
Tolowooza nti kyeejo
Byonna n'omutima gwange kwako
Omwana anjagala bye mwogera tabiriiko
(Sylvia onsobola)
Kyova olaba ndaluka nteekamu nakatijjo
(Sylvia osobola)
Sweetie Sili, Siri, Siriri Silivia
(Sylvia onsobola)
2 Comments
There is something missing
ReplyDeleteThere is a part missing
ReplyDelete