Ebirowoozo Lyrics – A Pass ft. Lillian Mbabazi
Ebirowoozo biri wuwo
Awo we biri tusulawo
Kululwo omubiri nguyiwawo
Kati ŋamba ekiddako
Nkwetaaga
Sisobola kwetanga yeah, yeah
Nkwesunga
Nga nkulinze okudda eka yeah, yeah
Baby kino olina okukimanya
Mu laavu yo nateekamu stamina
Ebigambo balina okubiwera
Tudde mu bikolwa kuba olumu tebiwera
Obugambo bw’onkuba bunsiimuula
Baby era bundeetera okwemoola
Tolaba amaaso bwe ngamoola
Baby kuba bwe nkulaba sitegeera
Awagwa enkuba nzisaawo musooli
Jangu tuzine nkunyweeze ekikooyi
Sembera ndabe mukwano olaba otya?
Laavu ekutte n’akati temanyi kipooli
Onkwasa n’ensonyi mukwano ompaana nnyo
Single love gy’ogaba nayo ewooma nnyo
Onfuula ng’omuto ate munnakyalo
Togiwummuza toteeka ku katandaalo
Ebirowoozo biri wuwo
Awo we biri tusulawo
Kululwo omubiri nguyiwawo
Kati ŋamba ekiddako
Nkwetaaga
Sisobola kwetanga yeah, yeah
Nkwesunga
Nga nkulinze okudda eka yeah, yeah
Baalugera balintuma olwange tafuna
So kwata ky’olina biri tebifuna
Buli akulobesa manya akufitina
Nkusaba beewale kube nga kwepena
By’oŋŋambye mukwano byonna mbiwulira
Biringa mmisa mu e Katulika
Buli ky’onyumya nze mba nkiwulira
Omukwano n’ebigambo gw’abinyumisa
Omukwano gwange diaper nina ogusitula
Nalina love baggage gwe n’ogintikkula
N’ojja n’ondaga omukwano gwe sisuubira
Gwe tokimanyi nti baby wansumulula
I don’t know why mi love you mister man!
But I’ll do whatever you say is guan
Stuck on you like di glue under di gum
I will use all the current in the dam River Nile
Ebirowoozo biri wuwo
Awo we biri tusulawo
Kululwo omubiri nguyiwawo
Kati ŋamba ekiddako
Nkwetaaga
Sisobola kwetanga yeah, yeah
Nkwesunga
Nga nkulinze okudda eka yeah, yeah
0 Comments