Emirembe Lyrics – Yesse Oman Rafiki

 

Emirembe Lyrics – Yesse Oman Rafiki



Route Music

One love
One love
One love to di world now
One love to di world now
Eli Arkhis Music

Biri abiri guno mwaka gw’abakkiriza
Gwatandika nina essuubi lye ssikkiriza
Nga bwe nsaba Katonda agobewo ekizikiza
Era nfune emirembe
January yansala nze n’akasimbi saafuna
Ne nnyingira February ne nzikiriza
Omwezi gwali gwa March border zaggalwa
Ne tubulwa emirembe
Bwegutyo omwaka ne ngusiibula
Omwaka gwa corona n’abayaaye battibwa
Emirembe tugirinze gy’otusuubiza
Taata gy’otusuubiza
Mukama ku mikisa gy’okweka
Nsigamu ku bibala by’okweka
Ntwala eyo ewabeera feeza
Mukama weebale, oh!
Mukama ku mikisa gy’osiiga
Nsigamu ku bibala by’okweka
Nze ntwala eyo ewabeera feeza
Mukama weebale

Nsuubira omulembe ogw’emirembe
Emirembe n’emirembe
Nsuubira emirembe n’emirembe
Mukama weebale
Nsuubira emirembe n’emirembe
Omulembe ogw’emirembe
Okyuusa emirembe n’emirembe
Mukama weebale

Mukwano n’eno ensi
Gitunuulire ogiwe obudde
Era n’ebyo by’ogiyizeemu
Bikutwalidde obudde
Nagulabye omulembe gwa mask
Ezirumya amatu okamala
Gwe laba n’ababbi bazeekwekamu otubala
Mwanamuwala akuyitako abigula tomutegedde
Mmwe aba kaliisoliiso
Mwatugamba mumanyi obibala
Experience mulina okamala
Corona yatusalako era mask yo yambala
(Abbey yambala)
Mmwe abawandiisi b’ennyimba zaatandise ofuluma
Anti abayimbi baakoma luli ozigula
N’amabbaasa twakoma luli ogalaba, eh!
N’amasasi mu chamber baagataddemu okamala
Abavubuka ekyo mulina okibala
Ne government mukomye ogivuma
Eyo ye Uganda
Eyo ye Uganda
Eyo ye Uganda ey’enkya
(Oh Uganda)
Eyo ye Uganda
Eyo ye Uganda
Eyo ye Uganda ey’enkya
(Oh Mukama yamba)

Nsuubira omulembe ogw’emirembe
Omulembe
Emirembe n’emirembe
Oba gwe osuubira ki?
Nsuubira emirembe n’emirembe
Osuubira ki munnange?
Mukama weebale
Gwe obadde osuubira ki?
Nsuubira emirembe n’emirembe
Osuubira ki?
Omulembe ogw’emirembe
Osuubira ki munnange?
Okyuusa emirembe n’emirembe
Mukama yamba
Mukama weebale

N’amaziga ge tukaaba tegatumala tugumya
N’eggwanga tegalimala dikuza
Emirembe gye tusabye katutunule ogiraba
Lwe ndikomawo nze lwe ndiranga lwe nina obimala
Ebya Katumba mulina obimanya
Sentence zoomubwongo zirina ofuluma, hmmm!

A Yesse Oman Rafiki
Ne Eli Arkhis on da beat
Mukama akukuume bambi

Bless we
Bless we Jah
Bless we
One love!




Post a Comment

0 Comments