Wansala Lyrics – Victor Ruz




Retro Records

Amaziga ge nkaabye gamala
Gamala ge nkaabye gamala
Amaziga ge nkaabye gamala (eeh)
Gamala ge nkaabye gamala (aah)

Nakkakkana nafuna we ntuula
Nsobole okwetegereza nga ŋŋamba
Nti osanga kye ndaba kiringa ekifu
Nannyogoga nga na buli kafunda mwe mpita
Bakukulisa kunneewala
Katugambe kye nnali ndaba eno mu nsi yange
Ebigambo bingi byayita
Nga tewali kinsaasira nze
Omutima ogwange ogwalumwa, oh no
Kati njoya kwekweka
Mannya kukyusa nfuneyo amapya
Ŋŋende ku kazinga ewatali anjeeya
Osanga oba embeera eriteeka
Etwale n’ebigezo n’ekyeya
Buli kigenda mu maaso ssikyebeera
Ssirinaawo kya kwekwasa nzikirizza
Wansala, wansala

Wansala, wansala
Ebintu byewalinga weeyama
Wabireka awo nootatya
N’ogenda n’ofunayo omupya
Kansuubire nti wakkuta
Olinywerera kw’oyo nnyabula
Nze kanzikirize nti wansala
Wansala, wansala

Amaziga ge nkaabye gamala
Gamala ge nkaabye gamala (hmmm)
Amaziga ge nkaabye gamala (gamala)
Gamala ge nkaabye gamala

Bwe nakukwasa obwesigwa
Mu bye nasuubira temwali kwejjusa
Kati ndi mu maziga gwe eyo weesesa
Let me hope gw’olina toomuzannyise
Kino ne mu byafaayo kirisomebwaako
Ntinno waabaayo omuntu
Eyasuula eyali amufaako
N’essuubi ne liggwaawo ooh oh
Nkucongratulatinga bravo
Ni gwe walonda akufittinga byebyo
Leka nsuubire
Taliwunzikira mu nsi eno eyange
Agambe wansala

Wansala, wansala
Ebintu byewalinga weeyama
Wabireka awo nootatya
N’ogenda n’ofunayo omupya (wansala)
Kansuubire nti wakkuta
Olinywerera kw’oyo nnyabula
Nze kanzikirize nti wansala
Wansala, wansala

(VJ Junior talking)
Omanyi ku nsi ya Katonda
Bitera okubeera ebintu bibiri
Ebitambuza era ebiwangaaza omukwano
Ekisookera ddala bubeera bwesigwa
Ate ekyokubiri bubeera bugumiikiriza
Bwoba wasalawo okwagala omuntu
Naye n’akwagala back
Kiba kitegeeza nti yakwesiga
N’akuwa omutima gwe
Naawe n’omuwa ogugwo
Naye ekisinga byonna bugumiikiriza
Mu relationship tusisinkana ebintu bingi
Tulaba ebintu bingi
Tukemebwa mu ngeri nnyingi
Naye ate bwe tussaamu obugumiikiriza
Tusobola ogezaako osisinkana ebirungi bingi
Sso noolwekyo, ali eyo yenna
Ng’olina omwagalwa wo
Ng’akwagala nga naawe omwagala
Kye mbasaba mu mukwano gwammwe
Musseemu obugumiikiriza
Mujja tuuka ku birungi bingi


 

Post a Comment

0 Comments